Ebyobuziba
Mu Luganda olwekusifu atomu era kaba kaziba kubanga akasirikitu kano katini nnyo oba kali wala nnyo n'eriiso eriri obukunya okulaba.Kino kitegeeza nti okulaba akaziba wetaaga enzimbulukusa (ennyanguyirizi eezimbulukus obusirikitu) ey'enjawulo.
Akaziba (atom) oba obuziba (atoms) bwe butoffaali obutinniinyo(obutini ennyo) obuzimba buli kintu era nga bwe buzimba n'obutaffaali bw'ebiramu (the cells of living things).
Essomo lya sayansi erikwata ku buziba bw'ebintu lye liyitibwa:
- Ebyobuziba: Chemistry
- Essomabuziba: Chemistry
Essomabuziba oba ebyobuziba (chemistry) ligerageranye ne "ebyobuzimbe" oba "essomabuzimbe" (physics). Mu butuufu "ebyobuziba"(chemistry) kitundu ku "ebyobuzimbe" (physics) , lwa kuba ddyo essomabuzimbe lisoma obuzimbe bw'ebintu byonna okuviira ddala ku buziba obusirikitu okutuukira ddala ku bwaguuga bw'ebisinde, enjuba, n'enkuluungo ezooro mu bwengula.
Ebyobuziba oba essomabuziba lisoma ku buzimbe bwa busirikitu nga obuziba (atomu) n'obuziizi (nucleus), Ebyobuziba lisoma buziba bwa kintu nga obuziba buno bwe butaffaali obusirikitu obuzimba buli kintu. Tusobola okwogera ku:
- Enkyusabuziba: Chemicals.
- Ekikyusabuziba: Chemical reaction.
- Enkyukakyuka ey'obuziba: Chemical change.
- Enkyukakyuka eyo ku ngulu: Physical change.