Ebyobuzimbe
Ebyobuzimbe oba Essomabuzimbe (Physics)
Ebyobuzimbe oba essomabuzimbe(Physics) ye sayansi w'obuzimbe n'enneeyisa z'obutonde ku mutendera ogw'obusirikitu obuziba(atomu) n'omutendera ogw'obwaguuka bw'obwengula..Essomabuzimbe lirimu:
(i) Empalirizo(Forces) (ii)Okuva(Motion)n'ekitambuzo(mechanics) (iii)Amasoboza , Amaanyi n'Okukola(Energy, Power and work) (iv)Amasannyalaze (Electricity) (v) Obwengula(the universe).Muno mulimi ebisinde(galaxies),Enjuba n'emmunyenye(Suns and star),, ensengekera y'enjuba yaffe (the solar system), n'ebirala. (vi) Ekitangaala, omugendo gw'amasoboza ag'amasannyalaze ne magineeti(electromagnetic energy (vii) Essomabuzimbe obw'Obuziizi(Nucleay Physics) .Muno mulimu:
(a) Ekyabuluzabuziizi(Nuclear fission) (b) Ekyegattisabuziizi(Nuclear fusion)
Essomabuziba oba ebyobuziba (Chemistry) kitundu ku essomabuzimbe(Physics).